Omukulembeze (2/3)
Enkeera buli eyayina obuvumu okwengaanga olugendo luno yakungaana. Amaka agaasoba mu bibiri gajja mu kifo ekyalondebwa. Batono nyo abaasigala okulabirira ekifo ekikadde.
Kyali kya nnaku nyo okutunulira nnamunji w’abantu bano abaali abanakuwavu abaakakibwa embeera embi okuva kuttaka lyabwe ely’obuzaale, nne bajajjaabwe webaagalamira. Obwenyi bwabwe bwali bwokedwa omusana, nga bulaga n’obukoowu. Okulafubana kw’emyaka emminji kwalabibwa kubbo ela kyalaga ekifaananyi ky’ennaku n’okumalibwaamu amaanyi. Naye mukaseera kenyini ako, waalabikibwaawo ettondo ly’esuubi – nga mweggaseemu n’okusubwa gyebava. Abakadde abamu bayungula ezziga nga banyenya emitwe gyabwe mumbeera y’ekyebikiro. Kyandibasingidde okusigala my kifo webaali, nabo basobole okufiira awali enjazi mukifo ky’okunoonya ekifo ekisingako. Abakyaala bangi bakaaba mu maloboozi agawaggulu ne basiibula abagenzi baabwe abalekebwa emabega muntaana.
Abasajja bbo baali balaga obuvumu nga bwebalekaana nti, – Banange, mukyayagala okusigala munjala n’obusiisira bw’ogufo guno? – Naye nga singa kyali kisoboka, banditutte obusiisira bwabwe, ettaka lyabwe ne byonna ebyabwe.
Kelele n’okuleekaaana kwaliwo ela nga bwekiba mu nnamungi w’omuntu. Abaami n’abakyaala baali sibatereevu. Abaana abato baali bakuba emilanga egyawaggulu nyo mu ngozi ku migongo gya bamaama babwe. Ente nno nazo zaali tezitereera. Ente tezaali nyingi nyo, akate kamu wano na wali, nga kwotadde embalaasi enjimu, n’omutwe n’amagulu amanene, nga kwebawekedde engoye, emigugu, nga mwattu etambula etagala olw’obuzito. Naye yasobola okubiwanilira byonna. Abalala emigugu bateeka ku ndogoyi; abaana bbo baali basikila mbwa ku miguwa. Gwaali mugattiko gw’aboogera, abaleekana, abavumagana, abakuba emilanga, abakaaba, ababoggola, n’enduulu z’embalaasi – byonna wamu. Naye omukulembeze ye yasigala tanyega, ng’oyinz’ogamba byali tebimukwatako. Kalimagezi yenyini!
Yatuula butuuzi mu kasirise, n’omutwe gwe nga agutunuzza wansi. Yatela nga nawandula ku ttaka; naye yakoma okwo. Olwembeera ye etategerekeka, yeeyongera nyo okumanyika nga era abagoberezi be bandy’ewadayo okugwa mu muliro, kulurwe. Obubooziboozi nga buno wammanga bwawulinkana:
– Tusanyuke nyo okuba nga twafuna omusajja nga ono. Singa olugendo twalessogga nga tetulinaye, kikafuwe! Twandizikiridde. Ayina amagezi gali genyini! Musirise. Tayina kyeyaanyeze! – omu kubbo yayogera nga amaaso bwagasimbye omukulembeze mukitiibwa n’okwenyumiriza okungi.
– Ayogere ki? Buli ayogera enyo tetera kulowooza byamakulu. Musajja mugezi, ggo gemazima! Afumintiriza bufumintirizi naye tanyega, – omulala kubbo nayongerezako, ng’era naye bwatunulira omukulembeze n’okutya.
– Sikyangu kukulembera abantu abanji! Ayina okukungaanya ebilowoozo bye kuba ayina omulimu munene mumikono gye, – omwogezi eyasoose nayongerezaako.
Esaawa y’okusimbula yatuuka. Naye, basooka nebalindako okumala akaseera okulaba oba wanabaayo abekyusa mundowooza babeggateko, naye bwewataabayo yajja, tebaalwaawo
– Tetuusimbule? – Bwebaabuuza omukulembeze.
Yayimukilawo nga tayina kyanyeze.
Abaami bakanyama bamwetoloola okumukuuma singa wabaawo ekituukawo kyebateetegekedde.
Omukulembeze, n’obweenyi obufunye, omutwe akyagutunuzza wansi, yatandika okutambula , nga bwawuuba akaggo ke mungeli ey’enjawulo. Olukungaana lwamuvaako emabega nga bwebalekaana, “Wangaala Omukulembeze waffe! ” Yeyongerayoko mumaaso katono naagwa kulusagaati mumaaso g’ekyaalo. Awo n’ayimirira; abamugoberera nabo nebayimirira. Omukulembeze naddako emabega natandika okuyisayisa amuggo gwe kukisagaati emirundi egiwerako.
–Kiki ky’oyagala tukole? – Bwebamubuuza.
Teyanyega.
– Tukole ki? Olusagaati tulumenyewo! Ekyo kyetuba kukola! Temulaba nga omuggo gwe akukosesezza kutulaga kyakukola? – Abaali betoolodde omukulembeze bwebaalekaana.
– Wankaaki yiili! Wankaaki yiili! – Abaana bwebaalekaana nga bwebasonga ku wankaaki eyabali kumabbali.
– Mubunire, musirike, baanamwe!
– Katondawange, kiki ekigenda mumaaso? – abakyala abamu bwebaayogera nga bwebakola obubonero bw’omusaalaba.
– Tewabawo anyega! Amanyi eky’okola. Olusagaati mulumenyewo!
Mukaseera ako kenyini, olusagaati lwamenyebwaawo.
Olusagaati baluyitako nebeeyongerayo.
Omukulembeze yagwa munsiko y’amaggwa nga tebannakuba na nta kikumi, awo bonna nebayimirira. Mubukalubirivu obunji, yasobola okuvaamu ela natandika okukuba omuggo gwe wansi wonna. Teri yaseguka.
– Atte kati kiki ekituusewo? – Ab’emabega balekaana.
– Ensiko y’amaggwa tujitemewo! – Abaali baliraannye omukulembeze nebagamba.
– Lirili ekkubo, emabega w’ensiko! Lirili! – Abaana n’abantu abaali emabega nebawoggana.
– Liryo ekkubo! Liryo ekkubo! – Abaali baliraanye omukulembeze nebagatirizako, nga kwotadde n’okugegeenya mubusungu. – Kati ffe abazibe tumanya tutya gy’atukulembera? Buly’omu tajja kugaba mateeka. Omukulembeze y’asinga okumanya ekkubo ettuufu. Ensiko mujitemewo!
Batandika okutema ensiko n’okukola ekkubo.
– Ouch, – omu kubbo yakaaba bweyalaariza omukono mumaggwa n’omulala eyakubibwa olusagalw’omuti gw’ekibala mufeesi.
– Ab’oluganda, temusobola kukungula nga temusize. Muyina okutoba musobole okwesiima, – asinga obuvumu yabaddamu.
Ensiko bajitema yonna oluvanyuma lw’okwongeramu amaanyi ela nebeyongerayo.
Balina webatuka nebagwa kulusagaati lw’ensaga olulala. Olwo nalwo balutema, ela nebeyongerayo.
Baasobola okukolako lujja lutono nyo ku lunaku olwasooka, olw’okusomozebwa kwebayitamu olunaku lwonna. Atte binno byonna babikola nga basiibiridde ku mmere entini enyo olw’ensonga nti abamu baali basibyeyo ku mugaati okwemalako enjala. Abamu tebayina yadde kyebalibasibye. Eky’omukisa omulungi, ebiro byali bya bibala ela basanga ku miti gy’ebibala wano na wali.
N’olwekyo, newankubadde tebagenda wala nyo, bawulira obukoowu obunji. Tewali bubenje oba eby’entiisa ebyatuukawo. Nga bwekisuubirwa mu namunji w’omuntu kulugendo, bino wammanga byebimu ku by’enkizi ebyatuukawo: eliggwa lyafumita eriiso ly’omukyaala erya kkono neliremeramu, era yaribikka n’akawelo akabisi; omu ku baana yekoona ekigere ku kiti era yatambula awenyera; omwami omukulu yetega ku muti gw’ebibala nabinuka akakongovule; oluvanyuma lwokuteekako obutungulu, omwami yagumira obulumi neyeyongerayo nga bw’agoberera omukulembeze nga atambuza muggo. (Okwogera amazima, abasinga bagamba ntino omwami ono yali alimba kuky’okubinuka akakongovule, nti era yali yekoza kuba yali yesunze okuddayo.) Oluvanyuma ddala, wali wasigaddewo bantu batono nyo abataafunayo kunkwagulo ez’amaggwa oba mu maaso gabwe. Abaami baguminkiriza byonna nga abazira kyoka bbo abakyala bayogera ebisongovu buli lwebeyongerangayo atte bbo abaana bakola gwa kukaaba, kuba baali tebategeera nti okukakaalukana n’obulumi bunno bwonna bulina empeera.
Essanyu lya buli omu lyali nti, tewali kyatuuka kumukulembeze. Amazima ddala, ye yalina obukuumi, naye era, yali wamukisa. Webaawumulira ekiro ekyasooka, buli omu yatandika okusaba neyebaza Katonda okubayisa mu lugendo bulungi, n’olwokuba nti tewali yadde nettondo ly’obulabe elyatuuka ku mukulembeze. Awo omu kubaami abasingayo obuvumu natandika okwogera. Yali afunye enkwagulo ku feesi ye, naye teyakifaako.
– Ab’oluganda, – yatandika okwogera. – Olunaku lw’olugendo olusooka kati lutuli mabega, Katonda yebazibwe. Ekkubo silyangu, naye tuyina okumalirira kubanaga ffena tumanyi nti ekkubo lino ely’obukalubirivu litutwaala mu kweesima n’amasanyu. Mukama Katonda ayongere okukuuma omukulembeze okuva ku bubenje bwonna, asobole okutukulembera obulungi.
– Enkya nankafiirwa eriiso singa ebintu bigenda nga leero webibadde! – omukyala omu yayogeza obusungu.
– Ouch, okugulu kwange! – omwaami omukulu nalajjana, oluvanyuma lwokuwulira omukyala byayogedde.
Abaana bbo beyongera kukaaba, ela nga ba maama babwe bwebafuba okubasirisa abantu basobole okuwulira omwogezi.
– Iyo, eriiso ojja kulifiirwa, – omwogezi namuddamu mu ngeri y’obusungu, – atte singa gombi ogafiirwa! Sikyantiisa nyo singa omukyala omu afiirwa amaaso gombi nga afiiririrwa ensonga enkulu nga eno. Oyina okwewulirira n’ensonyi! Tolowoozako ku mbeera y’abaana bo? Ekitundu kuffe nebwekisaanawo! Njawulo ki ekolebwa? Eriiso elimu ligasa ki? Amaaso go gagasaki nga atte waliwo omwami alimukufuba okutunoonyeza ekkubo erinatutuusa mu sanyu? Tulekerere byetukola tutandike kufa ku riiso lyo n’okugulu kw’omwami omukulu?
– Oyo alimba! Omwami oyo omukulu alimba! Alimukwekoza asobole okuddayo, – amaloboozi gawulinkana buli wamu wona.
– Ab’oluganda, buli ssekin’omu atayagala kweyongerayo, – amwogezi nabagamba, – addeyo mukifo ky’okuyomba n’okutataganya abasigadde. Nze ngenda kweyongera okugoberera omukulembeze ono omugezi nne buli kyange kyonna.
– Ffenna tujja kugoberera! Ffenna tujja kugoberera kasta tuba tukyayina obulamu!
Omukulembeze teyanyega.
Buly’omu yamutunulira nebatandika okwogera mubwaama:
– Ali mu bilowoozo!
– Kalimagezi!
– Tunulira ekyenyi kye!
– Abeela afunyiza obweenyi buli kaseera!
– Tasaaga!
– Muvumu! Okilabirawo mubulikimu ekimukwatako.
– Ky’ogereko wamma! Ebisagaati, ensiko, – byonna abiyitamu buyisi. Akozesa omuggo gwe, nga tayina ky’anyega, oyina okuteeba ekimuli mubirowoozo.