Luganda
Radoje Domanović (Mukutulansanja 16, 1873 – Muwakanya 17, 1908) yali muwandiisi omu Sabiya, munnamawulireera omusomesa, eyasingibwa okumanyikibwa olw’engero ze ezisomooza.
Radoje Domanović yazaalibwa mu kyaalo ekya Ovsište mu masekati g’ggwangalya Sabiya. Yatikkibwamu ssomero eKragujevac, mu Fakaluteya Philosophy ku ttendekero lya Belgrade Univasite, gyeyali asomera olulimi oluSabiya n’emisomo gy’ebyafaayo. Okuva mu 1895 mpaka mu 1898 Domanović yakola nga omusomesa w’olulimi OluSabiya n’ebyafaayo mu maserengeta ga Sabiya.
Mu biseera byeyali omusomesa, yatandika okuwandika engero ze ez’obuliwo. Mu biseera byeyali agolagana n’ab’oludda oluvuganyi, yafiirwa omulimu gwe era nagenda mu Belgrade n’amaka ge. Mu Belgrade, weyatandikira ogw’obunnamawulire mu bibinja by’obufuzi eby’enjawulo nga abawandiikira ebitabo eby’obufuzi nengero ezisomooza era nga omwo mweyayanjaliza obulyake n’obulimba obw’abakulembeze. Radoje yatandika okumanyibwa ennyo weyatongoza engero ze eziyitibwa “Omukulembeze” (1901) ne “Stradija“ (1902). Yamanyikibwa nyo nga omu ku bawakanya ekisinde ekya Obrenović n’obukulembeze bwabwe, olwensonga nti yali teyeluma ntama.
Oluvanyuma lw’amaje okuwamba entebe mu 1903, Domanović yawebwa obubaka okuva mu kitongole eky’eby’okusoma, wamu nne gavumenti empya, era nga bamukiliza okugenda mu Gerimani okusoma eby’obukugu okumala omwaka gumu era nga yagumalira mu kibuga kya Munich. Bweyadda eSabiya, eky’ennaku enyingi Radoje teyasanga nkyukakyuka yonna mu ggwanga. Awo weyatandikira okuwandika akatabo ke ak’obufuzi akayitidwa, “Stradija”, nga omwo mweyavumilira obutalibwenkanya ne demokulase ennafu eya gavumenti empya, nga wadde okuwandika kwe teyakussaamu maanyi nga eddako.
Radoje Domanović yafa nga ebulayo dakika asatu okuwela mukaaga ogw’ekiro mu mwezi gwa Muwakanya 17, 1908, ku myaka gya 35, oluvanyuma lw’ebbanga nga alwanyisa ekirwadde kya lubyamira n’akafuba. Ebitabo ebilala byeyawandika ebitaali bitongoze byabulira mu ssematalo w’ensi yonna eyasooka. Olw’omulimu gweyakola ogw’okulwanyisa obulyake, n’amagezi ge, ajjukibwa nga omuwandiisi omuSabiya asingayo mu mulembe ogw’amakumi abiri.
Ebimu ku biwandiko bya Radoje Domanović biteredwa wano wammanga:
- Okusanyizibwaawo kw’amaddu, 1898
- Enyanja enfu, 1902
- Omuzimu, 1898
- Omulangira Marko, mumassekati g’abaSabiya ogw’okubiri, 1901
- Endowooza y’ente ennume, eya Sabiya, 1902
Ebiwandiko ebivunnudwa
Pulojekiti ya “Radoje Domanović” elabiridwa Vladimir Živanović, yinjiniya ow’omulembenga era anyumirwa ebyalitulicha, nga omulamwa gwe gwakufuusa ebiwandiko by’omuSabiya Radoje Domanović okubizza mu ngeli ya digitookusobozesa abasomi munsi ez’enjawulo okubyetuusako n’okubisoma mu lulimi oluSabiya oba nga bivunnudwa mu nnimi zabwe ez’ekinnansi az’enjawulo. Olugero luno luvunnudwa kulwa Pulojekiti eno era lutongozeddwa wanno omulundi ogusooka:
- Omukulembeze (1–2–3), 1901
Kulwa Pulojekiti ya “Radoje Domanović” nga evunnudwa Kwagala Peace mu lulimi oLuganda.
[Contents of this biographical reference page were written for the “Radoje Domanović” Project with the goal of promoting the life and works of the famous Serbian satirist, Radoje Domanović, and are released into public domain. Editor]