Tag Archive | kutambula

Omukulembeze (3/3)

(olupapula olw’emabega)

Olunaku olwasooka lwayita, n’enaku eziddirira nazo nebaziyitamu mubuwanguzi bwebumu. Tewali ky’amaanyi nyo kyatuukawo, wabula waliwo ebyatuukawo eby’enkizi: bagwa mu kinya nga basosayo mitwe, bagwa ne mu lukonko; bafuna enkwagulo z’ensaga z’emiti gy’ebibala n’ensiko; balinya ku macupa; bangi bamenyeka emikono n’amagulu; abamu bakubwa ebikonde ku mitwe. Naye bino byonna babigumira. Abamu ku baami abakulu emilambo gyabwe gyalekebwa nga gyigalamizidwa ku kubo. “Nebwebandisigadeyo ewaka bandifudde, oba nekukubo! ” omwogezi bweyagamba, nga bw’azzamuabalala amanyi basobole okweyongerayo. Abamu ku baana abato wakati w’omwaka gumu n’ebiri, nabo bazikirira. Bazadde babwebekumakuma mumitima kuba yali nteeka ya Katonda. “Abaana gyebakoma okubeera abato, n’obulumi gyebukoma okubeera obutini. Katonda ayambe abazadde baleme kufiirwa baana babwe nga batuusiza emyaaka egyifumbirwa. Webeera ntuuko yabwe, kisingako nebafa amangu ddala. Awo ennaku tebeera yamaanyi nyo!” omwogezi yabazzamu amaanyi nate. Abamu baali beyisaako obuwelo ku nkwagulo ezaali ku mitwe gyabwe. Abalala abaali bamenyese emikono bbo baali bajisibidde mu bugoye okigyiwanilira. Wabula bonna baaliko ebiwundu n’enkwagulo. Engoye zabwe nga ziyuliseyulise, naye era bonna baali bamalirivu okweyongerayo n’essanyu. Bagumira enjala eyabaluma ennyo, era nebeyongerayo.

Waliwo ekintu eky’enkizi ekyatukawo, olunaku olumu.

Omukulembeze yali atambulira mu maaso, nga yetolodwa abasajja abasingayo obuvumu. (Ababiri ku bbo tebaliko ela nga tewali yali amanyi matwale gabwe. Engambo ezawulirwa wonna zali nti bali baliddemu banne olukwe nebatawanika. Lumu omwogezi yavumilirako obulyake bwabwe era nayogera nga bweyali ayina ekilowozo nti baffu, naye tewali yanyega.) Abantu abalala babali mabega. Amangu ddala balabikibwa ekiwonvu ekinene ennyo nga kijjude enjazi. Tewali yategana kukenganga olw’obuwanvu bwakyo. Buly’omu nga kwotadde n’abasajja abavumu bayimilira nebatunulira omukulembeze. Mubilowoozo ebinji n’okufunya obwenyi, yakulemberamu nga bwakozesa amuggo gwe mu ngeli ey’enjawulo. Banji bagamba kino kyamufanaya ow’omugaso ddala. Tayina gweyatunulira wadde okunyega. Yeeyongera okusemberera ekiwonvu nga era buly’omu, nabasajja abasingayo obuvumu, bamutunulira nga bibakalidde ku mimwa. Abasajja abasingayo obuvumu baali babulako katono nyo okumubaka bamuziyize okweyongerayo newankubadde kyali kimenya amateeka. Okutya kwaliku bulyomu nga abamu amaziga gabayitamu bwebalabanga omukulembeze asseyo wansi mu kiwonvu. Abamu baddukawo olw’okutya okunji.

– Mulindeko, ab’oluganda! Mupapira ki? Tuyina okugoberera omukulumbeze omugezi ono kubanga kyakola akimayi. Simulalu nti an’esanyawo. Kakati tweyongereyo, tumugoberere. Osanga kuno kwekusomozebwa okusembayo kulugendo lwaffe. Tuyinza okusanga ettaka eddunji, ejjimu Katonda lyatutegekedde oluvanyuma lw’okuyisa okiwonvu. Tweyongereyo! Bwetutabaako nne byetusaddaka, tetutuuke wala! – okwo kwekuwabulwa okwava eri omwogezi era oluvanyuma nakka mu kiwonvu. Abasingayo obuvumu bamugoberera, abantu abasigadde nabo nebaddako.

Waliwo amaziga, okukaaba, enduulu nga bwebakka mu kiwonvu ekiwanvu ennyo. Kyalabika nga abatakisimattuke nga balamu. Omukulembeze yali wa mukisa. Yekwatanga ku miti n’ebisubi munsiko bweyalinga agwa, ela teyakosebwa. Abalala bwebaali bakaaba, yatuula mu kiffo kimu, nga teyenyenya, nasilika. Kino kyanyiiza abamu ku bantu nebatandika n’okumuweleza ebigambo ebisongovu, naye teyanyega yadde n’oomu. Abaali basimatusse ebigwo mu nsiko bbo baali befubako kuvaayo. Abamu bbo emitwe bajikosa ela nga gyitiliika musaayi. Omukulembeze ye muntu yekka ataakosebwa. Kino bonna kyabanyiiza n’okubayombya naye teyabafaako, yadde n’okuyimusa omutwe. Yasilika busilisi nga omuntu ow’ekitiibwa.

Akaseela kayitako. Omewendo gw’abantu abaali ku lugendo gweyongera okukendera buli lukya. Abamu balekulira era nebaddayo gyebaava.

Ku muwendo omungi gwebatandika nagwo, kumpi abantu amakumi abiri bebasigalawo. Enjala, obukoowu, n’ennaku byali bibetimbye mumaaso, naye tewali yanyega munno. Bonna baali basilikirivu ng’omukulembeze wabwe nga era bwebeyongerayo mu maaso. Olugendo telwali lwangu n’akamu, era omwogezi yakanyanga kunyeenya bunyeenyi mutwe.

Omuwendo gw’abantu gweyongera okukendera mpaka webasigalawo bantu kumi bokka. Bakanyanga kulaga butali bumativu, n’okuyomba naye tewali yanyumya ku mboozi nna munne.

Bali batunula nga abasajja abalema. Abamu baali batambuza na miggo. Ab’emikono emimenyefu nga bajisibidde mungoye okujiwanilira. Emikono gyabwe gyali gyijjudde biwundu nga besibye obuziina.

N’abasajja abali abasinga obuvumu n’amaanyi, essuubi lyali lyabagwaamu dda naye era bali bamalirivu okweyongerayo kulugendo, mukwevumilira n’obukoowu obunji. Tewaali kyakukola. Bali tebasobola kuddayo. Baali basaddase binji okutuuka webaali.

Obudde bwaziba. Bakizuula nti omukulembeze tebakyamulaba mu maaso gabwe. Amangu ddala besanga bagguse mu kiwonvu ekilala.

– Aya, okugulu kwange! Aya, omukono gwange! – abantu baddamu okukaaba n’okulekaana. Eddoboozi erimu lyawulinkana nga liweereza ebigambo ebivumaganya omukulembeze.

Obudde bwebwakya, omukulembeze yatulira ddala nga bweyatuula nga bamulonda okubakulembera. Tewaali njawulo mu ntunula ye yadde.

Omwogezi yavayo mu kiwonvu, nga agoberedwa abalala babiri. Yali tategerekeka nga era ajjudde omusaayi. Bwebaakyuka emabega okulaba abalala abajja, tewali n’omu yadde gwebali balaba okujjako bbo. Okutya kwabajjula bonna, nebagwaamu essuubi mu mwoyo. Bali mukifo kyebatamanyi, ekijjudde ensozi, enjazi – awatali na mayitire. Ennaku bbiri emabega omukulembezze yeyabakulembera okubatuusa enno.

Balowooza ku mikwano n’aboluganda babwe abali bafiridde kulugendo luno. Ennaku ey’obulumi obunji yabajjula mu mu mubiri gwonna. Bali balabye okuzikirira n’amaso gabwe.

Omwogezi yatuuka awaali omukulembeze, mubukoowu n’obulumi obunji, n’eddoboozi elijjudde obukaawu, natandika okw’ogera.

– Kati tulaga wa?

Omukulembeze teyanyega.

– Otutwaala wa era eno wa gy’otuleese? Twakukwasa obulamu bwaffe n’abenganda zaffe netukugoberera, netulekerera amaka gaffe n’ebijja bya bajjajja baffe nga tuyina essuubi ely’okuwona okuzikirira mu kiffo ekyali ekikalu. Naye ggwe atte otuletedde okuzikirira okusingako. Tunulira abantu betusigazza, ku bantu ebibiri betwatandika nabo!

– Ky’ogamba buly’omu taliwo wano? – omukulembeze yabuuza, nga tayimussa na mutwe gwe.

– Oyinza otya okubuuza ekibuuzo nga ekyo? Yimusa amaaso welabireko! Tubale nga wetuli olabe abantu abasigaddewo ku lugendo luno olw’ekitalo! Lengera embeera gyetulimu! Kyandisinseko netufa okusinga okulemala bwetuti.

– Sisobola kubalaba!

– Nga lwaki nedda?

– Ndi muzibe.

Buly’omu teyanyega.

– Amaaso ggo gazibira kulugendo?

– Nazaalibwa nga ndi muzibe!

Abasatu bonna bamutunulira nga tebakikkiriza.

Empewo yafuuwila wakati munsozi era ebikoola bingi byagwa wansi. Olufu lwakwata munsozi wonna, n’ebinyonyi nebibuukira mu mpewo mungeri y’ekyebikiro. Enjuba yekweeka mu bile, ebyali byeyongera okubulirayo amangu ddala.

Abasatu betunulira mu kutya okungi.

– Kati tulage wa? – omu ku bbo yabuuza mpola nyo.

– Tetumanyi!

 

Mu Belgrade, 1901.
Kulwa Pulojekiti ya “Radoje Domanović” nga evunnudwa Kwagala Peace mu lulimi oLuganda, 2020.

Omukulembeze (2/3)

(olupapula olw’emabega)

Enkeera buli eyayina obuvumu okwengaanga olugendo luno yakungaana. Amaka agaasoba mu bibiri gajja mu kifo ekyalondebwa. Batono nyo abaasigala okulabirira ekifo ekikadde.

Kyali kya nnaku nyo okutunulira nnamunji w’abantu bano abaali abanakuwavu abaakakibwa embeera embi okuva kuttaka lyabwe ely’obuzaale, nne bajajjaabwe webaagalamira. Obwenyi bwabwe bwali bwokedwa omusana, nga bulaga n’obukoowu. Okulafubana kw’emyaka emminji kwalabibwa kubbo ela kyalaga ekifaananyi ky’ennaku n’okumalibwaamu amaanyi. Naye mukaseera kenyini ako, waalabikibwaawo ettondo ly’esuubi – nga mweggaseemu n’okusubwa gyebava. Abakadde abamu bayungula ezziga nga banyenya emitwe gyabwe mumbeera y’ekyebikiro. Kyandibasingidde okusigala my kifo webaali, nabo basobole okufiira awali enjazi mukifo ky’okunoonya ekifo ekisingako. Abakyaala bangi bakaaba mu maloboozi agawaggulu ne basiibula abagenzi baabwe abalekebwa emabega muntaana.

Abasajja bbo baali balaga obuvumu nga bwebalekaana nti, – Banange, mukyayagala okusigala munjala n’obusiisira bw’ogufo guno? – Naye nga singa kyali kisoboka, banditutte obusiisira bwabwe, ettaka lyabwe ne byonna ebyabwe.

Kelele n’okuleekaaana kwaliwo ela nga bwekiba mu nnamungi w’omuntu. Abaami n’abakyaala baali sibatereevu. Abaana abato baali bakuba emilanga egyawaggulu nyo mu ngozi ku migongo gya bamaama babwe. Ente nno nazo zaali tezitereera. Ente tezaali nyingi nyo, akate kamu wano na wali, nga kwotadde embalaasi enjimu, n’omutwe n’amagulu amanene, nga kwebawekedde engoye, emigugu, nga mwattu etambula etagala olw’obuzito. Naye yasobola okubiwanilira byonna. Abalala emigugu bateeka ku ndogoyi; abaana bbo baali basikila mbwa ku miguwa. Gwaali mugattiko gw’aboogera, abaleekana, abavumagana, abakuba emilanga, abakaaba, ababoggola, n’enduulu z’embalaasi – byonna wamu. Naye omukulembeze ye yasigala tanyega, ng’oyinz’ogamba byali tebimukwatako. Kalimagezi yenyini!

Yatuula butuuzi mu kasirise, n’omutwe gwe nga agutunuzza wansi. Yatela nga nawandula ku ttaka; naye yakoma okwo. Olwembeera ye etategerekeka, yeeyongera nyo okumanyika nga era abagoberezi be bandy’ewadayo okugwa mu muliro, kulurwe. Obubooziboozi nga buno wammanga bwawulinkana:

– Tusanyuke nyo okuba nga twafuna omusajja nga ono. Singa olugendo twalessogga nga tetulinaye, kikafuwe! Twandizikiridde. Ayina amagezi gali genyini! Musirise. Tayina kyeyaanyeze! – omu kubbo yayogera nga amaaso bwagasimbye omukulembeze mukitiibwa n’okwenyumiriza okungi.

– Ayogere ki? Buli ayogera enyo tetera kulowooza byamakulu. Musajja mugezi, ggo gemazima! Afumintiriza bufumintirizi naye tanyega, – omulala kubbo nayongerezako, ng’era naye bwatunulira omukulembeze n’okutya.

– Sikyangu kukulembera abantu abanji! Ayina okukungaanya ebilowoozo bye kuba ayina omulimu munene mumikono gye, – omwogezi eyasoose nayongerezaako.

Esaawa y’okusimbula yatuuka. Naye, basooka nebalindako okumala akaseera okulaba oba wanabaayo abekyusa mundowooza babeggateko, naye bwewataabayo yajja, tebaalwaawo

– Tetuusimbule? – Bwebaabuuza omukulembeze.

Yayimukilawo nga tayina kyanyeze.

Abaami bakanyama bamwetoloola okumukuuma singa wabaawo ekituukawo kyebateetegekedde.

Omukulembeze, n’obweenyi obufunye, omutwe akyagutunuzza wansi, yatandika okutambula , nga bwawuuba akaggo ke mungeli ey’enjawulo. Olukungaana lwamuvaako emabega nga bwebalekaana, “Wangaala Omukulembeze waffe! ” Yeyongerayoko mumaaso katono naagwa kulusagaati mumaaso g’ekyaalo. Awo n’ayimirira; abamugoberera nabo nebayimirira. Omukulembeze naddako emabega natandika okuyisayisa amuggo gwe kukisagaati emirundi egiwerako.

–Kiki ky’oyagala tukole? – Bwebamubuuza.

Teyanyega.

– Tukole ki? Olusagaati tulumenyewo! Ekyo kyetuba kukola! Temulaba nga omuggo gwe akukosesezza kutulaga kyakukola? – Abaali betoolodde omukulembeze bwebaalekaana.

– Wankaaki yiili! Wankaaki yiili! – Abaana bwebaalekaana nga bwebasonga ku wankaaki eyabali kumabbali.

– Mubunire, musirike, baanamwe!

– Katondawange, kiki ekigenda mumaaso? – abakyala abamu bwebaayogera nga bwebakola obubonero bw’omusaalaba.

– Tewabawo anyega! Amanyi eky’okola. Olusagaati mulumenyewo!

Mukaseera ako kenyini, olusagaati lwamenyebwaawo.

Olusagaati baluyitako nebeeyongerayo.

Omukulembeze yagwa munsiko y’amaggwa nga tebannakuba na nta kikumi, awo bonna nebayimirira. Mubukalubirivu obunji, yasobola okuvaamu ela natandika okukuba omuggo gwe wansi wonna. Teri yaseguka.

– Atte kati kiki ekituusewo? – Ab’emabega balekaana.

– Ensiko y’amaggwa tujitemewo! – Abaali baliraannye omukulembeze nebagamba.

– Lirili ekkubo, emabega w’ensiko! Lirili! – Abaana n’abantu abaali emabega nebawoggana.

– Liryo ekkubo! Liryo ekkubo! – Abaali baliraanye omukulembeze nebagatirizako, nga kwotadde n’okugegeenya mubusungu. – Kati ffe abazibe tumanya tutya gy’atukulembera? Buly’omu tajja kugaba mateeka. Omukulembeze y’asinga okumanya ekkubo ettuufu. Ensiko mujitemewo!

Batandika okutema ensiko n’okukola ekkubo.

– Ouch, – omu kubbo yakaaba bweyalaariza omukono mumaggwa n’omulala eyakubibwa olusagalw’omuti gw’ekibala mufeesi.

– Ab’oluganda, temusobola kukungula nga temusize. Muyina okutoba musobole okwesiima, – asinga obuvumu yabaddamu.

Ensiko bajitema yonna oluvanyuma lw’okwongeramu amaanyi ela nebeyongerayo.

Balina webatuka nebagwa kulusagaati lw’ensaga olulala. Olwo nalwo balutema, ela nebeyongerayo.

Baasobola okukolako lujja lutono nyo ku lunaku olwasooka, olw’okusomozebwa kwebayitamu olunaku lwonna. Atte binno byonna babikola nga basiibiridde ku mmere entini enyo olw’ensonga nti abamu baali basibyeyo ku mugaati okwemalako enjala. Abamu tebayina yadde kyebalibasibye. Eky’omukisa omulungi, ebiro byali bya bibala ela basanga ku miti gy’ebibala wano na wali.

N’olwekyo, newankubadde tebagenda wala nyo, bawulira obukoowu obunji. Tewali bubenje oba eby’entiisa ebyatuukawo. Nga bwekisuubirwa mu namunji w’omuntu kulugendo, bino wammanga byebimu ku by’enkizi ebyatuukawo: eliggwa lyafumita eriiso ly’omukyaala erya kkono neliremeramu, era yaribikka n’akawelo akabisi; omu ku baana yekoona ekigere ku kiti era yatambula awenyera; omwami omukulu yetega ku muti gw’ebibala nabinuka akakongovule; oluvanyuma lwokuteekako obutungulu, omwami yagumira obulumi neyeyongerayo nga bw’agoberera omukulembeze nga atambuza muggo. (Okwogera amazima, abasinga bagamba ntino omwami ono yali alimba kuky’okubinuka akakongovule, nti era yali yekoza kuba yali yesunze okuddayo.) Oluvanyuma ddala, wali wasigaddewo bantu batono nyo abataafunayo kunkwagulo ez’amaggwa oba mu maaso gabwe. Abaami baguminkiriza byonna nga abazira kyoka bbo abakyala bayogera ebisongovu buli lwebeyongerangayo atte bbo abaana bakola gwa kukaaba, kuba baali tebategeera nti okukakaalukana n’obulumi bunno bwonna bulina empeera.

Essanyu lya buli omu lyali nti, tewali kyatuuka kumukulembeze. Amazima ddala, ye yalina obukuumi, naye era, yali wamukisa. Webaawumulira ekiro ekyasooka, buli omu yatandika okusaba neyebaza Katonda okubayisa mu lugendo bulungi, n’olwokuba nti tewali yadde nettondo ly’obulabe elyatuuka ku mukulembeze. Awo omu kubaami abasingayo obuvumu natandika okwogera. Yali afunye enkwagulo ku feesi ye, naye teyakifaako.

– Ab’oluganda, – yatandika okwogera. – Olunaku lw’olugendo olusooka kati lutuli mabega, Katonda yebazibwe. Ekkubo silyangu, naye tuyina okumalirira kubanaga ffena tumanyi nti ekkubo lino ely’obukalubirivu litutwaala mu kweesima n’amasanyu. Mukama Katonda ayongere okukuuma omukulembeze okuva ku bubenje bwonna, asobole okutukulembera obulungi.

– Enkya nankafiirwa eriiso singa ebintu bigenda nga leero webibadde! – omukyala omu yayogeza obusungu.

– Ouch, okugulu kwange! – omwaami omukulu nalajjana, oluvanyuma lwokuwulira omukyala byayogedde.

Abaana bbo beyongera kukaaba, ela nga ba maama babwe bwebafuba okubasirisa abantu basobole okuwulira omwogezi.

– Iyo, eriiso ojja kulifiirwa, – omwogezi namuddamu mu ngeri y’obusungu, – atte singa gombi ogafiirwa! Sikyantiisa nyo singa omukyala omu afiirwa amaaso gombi nga afiiririrwa ensonga enkulu nga eno. Oyina okwewulirira n’ensonyi! Tolowoozako ku mbeera y’abaana bo? Ekitundu kuffe nebwekisaanawo! Njawulo ki ekolebwa? Eriiso elimu ligasa ki? Amaaso go gagasaki nga atte waliwo omwami alimukufuba okutunoonyeza ekkubo erinatutuusa mu sanyu? Tulekerere byetukola tutandike kufa ku riiso lyo n’okugulu kw’omwami omukulu?

– Oyo alimba! Omwami oyo omukulu alimba! Alimukwekoza asobole okuddayo, – amaloboozi gawulinkana buli wamu wona.

– Ab’oluganda, buli ssekin’omu atayagala kweyongerayo, – amwogezi nabagamba, – addeyo mukifo ky’okuyomba n’okutataganya abasigadde. Nze ngenda kweyongera okugoberera omukulembeze ono omugezi nne buli kyange kyonna.

– Ffenna tujja kugoberera! Ffenna tujja kugoberera kasta tuba tukyayina obulamu!

Omukulembeze teyanyega.

Buly’omu yamutunulira nebatandika okwogera mubwaama:

– Ali mu bilowoozo!

– Kalimagezi!

– Tunulira ekyenyi kye!

– Abeela afunyiza obweenyi buli kaseera!

– Tasaaga!

– Muvumu! Okilabirawo mubulikimu ekimukwatako.

– Ky’ogereko wamma! Ebisagaati, ensiko, – byonna abiyitamu buyisi. Akozesa omuggo gwe, nga tayina ky’anyega, oyina okuteeba ekimuli mubirowoozo.

(lupapula oluddako)

Omukulembeze (1/3)

– Ab’Oluganda n’abemikwano, Mpulirizzaokwogela kwamwe kwonna, wew’awo kati nange mbasaba mumpulirize. Endowooza nenteesaganya zaffe zonna teziyina mulamwa nga tukyawangaalira mukifokinoeky’olukalu. Tewali kisobode kubala mukifokinoeky’olukalu nenjazi, nebwankubade nga twafunamu emyak’eminji egy’enkuba, nga kwotadde nemukino ekyeeya ekitalabwangako. Tulikituusawa eky’okukungaana netwogera ebitakutuka? Ente zigwaawo olw’enjala, ela amangu ddala n’abaana baffe eja kubatta. Tuyina okusala amagezi amalala agasingako. Nze ndowoza kyandisinzeko singa tuva mukifo kino eky’olukalu netulambula ku biffo ebilala munsi ebiyina ettaka ejjimu kubanga tetukyasobola kuwangaalira wano wetuli.

Bwatyo omutuuze w’ekifo eky’olukalubweyayogera mudoboozi ely’obukoowu mu lukungaana olumu. Wa ne ddi lwebyali tebikukwatako newankubadde nze, bwendowoza. Kya nkizi nyo okunzikilirizamu nti kyatuukawo mu kifo ekimu eddako. Okwogeza amazima, nalowoozako nti luno olugero nayiiya luyiiye, naye mpola mpola neenunula. Kati nzikiliriza ddala nti ngenda kukwataganya ebyatuukawon’ebisuubirwa okuba nga byatuukawo mu kifo ekimu era ne mu kiseera ekimu era nga siyinza kuba nga nabiyiiya.

Abawulize, mu kwewunya n’okusoberwa okungi, nga n’emikono gyibali mu biwato, baalinga abatandise okubitegeera oluvanyuma lw’ebigambo bino eby’amagezi okwogerwa. Buli omu yali yakubye dda ekifaananyi eky’ensi ey’ebyewunyisa, awali nti amakungula g’okumenyeka gaali ga bugagga obunji.

– Kyayogera kituufu! Mutuufu! – amaloboozi mu bwaama n’obukoowu obunji gawulinkana mu kifo kyonna.

– Naye ekiffo eky’ogerwako kino…kili… kumpi oba? – akaloboozi akawansi enyo kawulinkana mu koona elimu.

– Ab’oluganda! – omulala nayogeza eddoboozi eggumivu. – Tuyina okugobelera okuwaburwa kunno amangu ddala kuba tetukyasobola kubeera bwetuti mu kifo kino. Twefubyeko nyo, n’okutoba netutoba nnyo, naye byonna mpaawo. Tusimbye ensigo, osanga zetwandi fumbye netulya, naye era amataba gasaanyawo ensigo zonna nga kwotadde nettaka mwezasimbibwa, era kakati njazi zokka zetwasigaza, awali ettaka ejjimu. Tunasigala wano emirembe n’emirembe nga tutoba misana na kiro, naye nga tweyongera kusiiba njala nga kwotadde n’enkalamata, okusiiba obukunya n’okubulwa wadde engatto mwetuteeka kubigere? Tuyina okunonya ku bifo ebilala ebiyina ku takka ejjimu awali amakungula amanji ag’ebibala n’emmere oluvanyuma lw’okukola enyo.

– Tugende! Tugende amangu ddala kubanga ekifo kino tekikyasaana kubelamu muntu wanna.

Obwaama bwatandika okwogerwa, buly’omu natandika okukwata ekkubo lye, nga tewali n’omu eyelowoozamu nti mwattu alaga wa.

– Mulindeko, ab’oluganda! Mulaga wa? – omwogezi eyasoose nababuuza naye. – Kyo kituufu tuyina okugenda, naye atte si bwetuti. Tuyina okusooka okumanya wa wetulaga. Awatali ekyo tuyinza okugwa mubutyabaga obusingawo atte mukifo ky’okwetaasa. Nze nteesa tulonde omukulembeze gwetunagondela atte ela anatulaga ekkubo elisingako.

– Tumulonde! Tumulonderewo! – byebyawulinkana wonna.

Awo wenyini we waava okuwakana, ne tabbu ey’amaanyi ddala. Buly’omu yali ayina kyagamba nga tewali n’omu awuliriza wadde nokuwulira ebigambiwa. Baali batandise okweyawula mubibinja, buly’omu nga ayogelezeganya ne munne, ela atte n’oluvanyuma n’ebibinja ebyakolwa ne byeyawulamu. Babiri babiri, batandika okwesikanganganya emikono, nga bwebogera, n’okwagala okulaga amanyi, nga bwebesika n’amasaati. Oluvanyuma nebaddamu okwekunganya, nga bwebogera.

– Ab’oluganda! – oluvanyuma natte, eddoboozi erisingako obuggumivu, erya sirisa kelere n’amaloboozi gonna, neryogera. – Tetusobola kutuuka kunzigilizaganya bwetuti. Buly’omu ayogera kyoka teri awuliriza. Tulonde omukulembeze! Ani muffe gwetusobola okulonda? Ani muffe atambuddeko ekimala, nga amanyi amakubo gonna? Ffenna twemanyi bulungi nyo, nay’atte nze ssekinnomu, n’ab’enyumba yange sisobola kub’esigisa bukulembeze bw’omuntu yenna kumwe. Wabula, wabewo ambulila omutambuze oli asiibye attude wansi w’ekyo ekisikilize kumabbali g’oluguudo okuva kumakya?

Akasilise nekagwawo. Buly’omu yakyuka natunulila omugwira nga bwebamupima okuva kumutwe mpaka kubigere.

Omutambuze ono, omukulumu, nga ayina entunula ennakuwavu, eyali ejjude ebilevu n’enviiri empanvu enyo, yatuula nasigala nga musirifu, wakati mubilowozo ebinji, nga bwkubanganya akati wansi muttaka okumukumu.

– Eggulo nalabye omusajja y’omu oyo, naye ng’ate yabadde n’omulenzi omuto. Babadde bekutte emikono nga bwebatambula. Oluvanyuma lw’ekiro ky’ejjo omulenzi omutto naava kukyalo neyeyongerayo, wabula ye omugwira ono nasigala wano.

– Ow’oluganda, bino tubiveeko tubyelabire tulekekufirwa budde bwonna. Omugwira kyonna kyali, gy’avudde wala kuba fenna tetumumanyu ela wew’awo y’asingila ddala okumanya ekkubo elyangu ela erisingako okutukulembera. Mukutegera kwange, musajja mugezi nyo, kubanga atudde awo afumintiriza birowoozo mukasilise. Omuntu omulala yenna yandibadde yatwegassemu dda nga kwotadde n’okwogelezaganya naffe, kyoka atte ye asibye atudde awo yekka mukasilise.

– Kitufu wamma, omusajja atudde awo nga asirikiridde lwakubanga ayina kyalowoza. Musajja mugezi ddala, – abasigadde nabo nebongerezako nga bwebeyongera okumwetegereza natte. Buly’omu yamala nazula eky’enjawulo kumugwira ono, ekilagira ddala nti musajja mugezi nyo.

Tebakilwako nyo, era kunkomelero kyandiba eky’amagezi okubuza omutambuze ono – eyabalabikirwa nga Katonda gwalese okubakulembera munsi nga bwebanoonya ekifo ekisingako, wamma nga nekwotadde ettaka ejjimu. Yandibadde omukulembeze wabwe, ela baalimuwulirizza, n’okumugondera awatali okubuuza.

Belondamu abasajja kumi abaali balina okugenda eli omugwira ono okumuyitilamu ku kyebasazeewo. Abasajja bano abalonde baalina okumulaga ennaku yabwe ela bamusabe abakulembere.

Ekkumi abalonde bamutuukilira nebamuvunamira mubuwombefu obunji. Omu kubbo yatandika okwogera ku ttaka ely’olukalu mu kifo kyabwe, nekumyaka egy’enjala nga kwotadde ennaku empitirivu. Bwati bweyawunzika:

– Embeera zino zitukaka okuva mu maka gaffe n’ettaka lyaffe okunoonya amaka agasingako obulungi. Kakano nga twakamaliriza okukkanya, kilabise nga Katonda atulaze ekisa kye, mukutuweereza gwe– gwe, oamugwira omugezi atte asanidde – elang’ojja kutukulembera era otununule mu nnaku yaffe. Tukikirira abatuuze b’ekiffo kino bonna, nga tukusaba otukulembere. Buli gy’onagendanga, tunakugoberera. Amakubo ogamanyi atte era oteeka okuba nga wazaalibwa mukifo ekisingako wano nga era kya sanyu. Tujja kukuwulirizanga era tugondere amateeka go. Omugwira omugezi, onakkiriza okununula abantu bano abanji okuva mu kusaanyizibwawo? Onaafukka omukulembeze waffe?

Mu kwogera kuno kwonna, omugwira omugezi teyayimusa ku mutwe gwe. Ebbanga lyonna yasigala mukifo kyekimu kyebamusangamu. Omutwe yali agusulise, nga simusanyufu, ela tayina kyeyanyega. Akaggo ke keyeyongera okkuba ku ttaka nga – bw’alowooza. Okwogera bwekwaggwa, yayogera mpola mu bukkakamu, nga teyekyusizamu nti:

– Nzikirizza!

– Tunagenda nawe okunoonya ekifo ekisingako?

– Kisoboka! – yeyongera okuddamu nga omutwe akyagusulise.

Batandika okucamuka n’okulaga okusiima kwabwe, naye omugwira teyabanyega.

Ekkumibabulira olukungaana ku kusomoka kwabwe, nebeyongera okukkatiriza ku magezi amanji omugwira ono geyalina.

– Teyavuddeko mu kifo newankubadde okuyimusa omutwe gwe okulaba ku baani ab’ogera naye. Yatudde butuuzi nafumintiriza mu kasirise. Byonna byetwayogera n’okusiima yanyega bigambo bina byokka.

– Kagezi munnyo! Kamanya byonna! – byebawoggana mu sanyu eppitirivu nga bagamba Katonda ye kenyini yabamuwa nga malaika okuva mu ggulu okubanunula. Bonna bali bamativu okusomoka n’omukulembeze ng’ono ataataataganyizibwe kintu kyona munsi. Ela nebakkanya nti bakusimbula mumatumbi budde g’olunaku oluddako.

(lupapula oluddako)