Tag Archive | kabi

Omukulembeze (3/3)

(olupapula olw’emabega)

Olunaku olwasooka lwayita, n’enaku eziddirira nazo nebaziyitamu mubuwanguzi bwebumu. Tewali ky’amaanyi nyo kyatuukawo, wabula waliwo ebyatuukawo eby’enkizi: bagwa mu kinya nga basosayo mitwe, bagwa ne mu lukonko; bafuna enkwagulo z’ensaga z’emiti gy’ebibala n’ensiko; balinya ku macupa; bangi bamenyeka emikono n’amagulu; abamu bakubwa ebikonde ku mitwe. Naye bino byonna babigumira. Abamu ku baami abakulu emilambo gyabwe gyalekebwa nga gyigalamizidwa ku kubo. “Nebwebandisigadeyo ewaka bandifudde, oba nekukubo! ” omwogezi bweyagamba, nga bw’azzamuabalala amanyi basobole okweyongerayo. Abamu ku baana abato wakati w’omwaka gumu n’ebiri, nabo bazikirira. Bazadde babwebekumakuma mumitima kuba yali nteeka ya Katonda. “Abaana gyebakoma okubeera abato, n’obulumi gyebukoma okubeera obutini. Katonda ayambe abazadde baleme kufiirwa baana babwe nga batuusiza emyaaka egyifumbirwa. Webeera ntuuko yabwe, kisingako nebafa amangu ddala. Awo ennaku tebeera yamaanyi nyo!” omwogezi yabazzamu amaanyi nate. Abamu baali beyisaako obuwelo ku nkwagulo ezaali ku mitwe gyabwe. Abalala abaali bamenyese emikono bbo baali bajisibidde mu bugoye okigyiwanilira. Wabula bonna baaliko ebiwundu n’enkwagulo. Engoye zabwe nga ziyuliseyulise, naye era bonna baali bamalirivu okweyongerayo n’essanyu. Bagumira enjala eyabaluma ennyo, era nebeyongerayo.

Waliwo ekintu eky’enkizi ekyatukawo, olunaku olumu.

Omukulembeze yali atambulira mu maaso, nga yetolodwa abasajja abasingayo obuvumu. (Ababiri ku bbo tebaliko ela nga tewali yali amanyi matwale gabwe. Engambo ezawulirwa wonna zali nti bali baliddemu banne olukwe nebatawanika. Lumu omwogezi yavumilirako obulyake bwabwe era nayogera nga bweyali ayina ekilowozo nti baffu, naye tewali yanyega.) Abantu abalala babali mabega. Amangu ddala balabikibwa ekiwonvu ekinene ennyo nga kijjude enjazi. Tewali yategana kukenganga olw’obuwanvu bwakyo. Buly’omu nga kwotadde n’abasajja abavumu bayimilira nebatunulira omukulembeze. Mubilowoozo ebinji n’okufunya obwenyi, yakulemberamu nga bwakozesa amuggo gwe mu ngeli ey’enjawulo. Banji bagamba kino kyamufanaya ow’omugaso ddala. Tayina gweyatunulira wadde okunyega. Yeeyongera okusemberera ekiwonvu nga era buly’omu, nabasajja abasingayo obuvumu, bamutunulira nga bibakalidde ku mimwa. Abasajja abasingayo obuvumu baali babulako katono nyo okumubaka bamuziyize okweyongerayo newankubadde kyali kimenya amateeka. Okutya kwaliku bulyomu nga abamu amaziga gabayitamu bwebalabanga omukulembeze asseyo wansi mu kiwonvu. Abamu baddukawo olw’okutya okunji.

– Mulindeko, ab’oluganda! Mupapira ki? Tuyina okugoberera omukulumbeze omugezi ono kubanga kyakola akimayi. Simulalu nti an’esanyawo. Kakati tweyongereyo, tumugoberere. Osanga kuno kwekusomozebwa okusembayo kulugendo lwaffe. Tuyinza okusanga ettaka eddunji, ejjimu Katonda lyatutegekedde oluvanyuma lw’okuyisa okiwonvu. Tweyongereyo! Bwetutabaako nne byetusaddaka, tetutuuke wala! – okwo kwekuwabulwa okwava eri omwogezi era oluvanyuma nakka mu kiwonvu. Abasingayo obuvumu bamugoberera, abantu abasigadde nabo nebaddako.

Waliwo amaziga, okukaaba, enduulu nga bwebakka mu kiwonvu ekiwanvu ennyo. Kyalabika nga abatakisimattuke nga balamu. Omukulembeze yali wa mukisa. Yekwatanga ku miti n’ebisubi munsiko bweyalinga agwa, ela teyakosebwa. Abalala bwebaali bakaaba, yatuula mu kiffo kimu, nga teyenyenya, nasilika. Kino kyanyiiza abamu ku bantu nebatandika n’okumuweleza ebigambo ebisongovu, naye teyanyega yadde n’oomu. Abaali basimatusse ebigwo mu nsiko bbo baali befubako kuvaayo. Abamu bbo emitwe bajikosa ela nga gyitiliika musaayi. Omukulembeze ye muntu yekka ataakosebwa. Kino bonna kyabanyiiza n’okubayombya naye teyabafaako, yadde n’okuyimusa omutwe. Yasilika busilisi nga omuntu ow’ekitiibwa.

Akaseela kayitako. Omewendo gw’abantu abaali ku lugendo gweyongera okukendera buli lukya. Abamu balekulira era nebaddayo gyebaava.

Ku muwendo omungi gwebatandika nagwo, kumpi abantu amakumi abiri bebasigalawo. Enjala, obukoowu, n’ennaku byali bibetimbye mumaaso, naye tewali yanyega munno. Bonna baali basilikirivu ng’omukulembeze wabwe nga era bwebeyongerayo mu maaso. Olugendo telwali lwangu n’akamu, era omwogezi yakanyanga kunyeenya bunyeenyi mutwe.

Omuwendo gw’abantu gweyongera okukendera mpaka webasigalawo bantu kumi bokka. Bakanyanga kulaga butali bumativu, n’okuyomba naye tewali yanyumya ku mboozi nna munne.

Bali batunula nga abasajja abalema. Abamu baali batambuza na miggo. Ab’emikono emimenyefu nga bajisibidde mungoye okujiwanilira. Emikono gyabwe gyali gyijjudde biwundu nga besibye obuziina.

N’abasajja abali abasinga obuvumu n’amaanyi, essuubi lyali lyabagwaamu dda naye era bali bamalirivu okweyongerayo kulugendo, mukwevumilira n’obukoowu obunji. Tewaali kyakukola. Bali tebasobola kuddayo. Baali basaddase binji okutuuka webaali.

Obudde bwaziba. Bakizuula nti omukulembeze tebakyamulaba mu maaso gabwe. Amangu ddala besanga bagguse mu kiwonvu ekilala.

– Aya, okugulu kwange! Aya, omukono gwange! – abantu baddamu okukaaba n’okulekaana. Eddoboozi erimu lyawulinkana nga liweereza ebigambo ebivumaganya omukulembeze.

Obudde bwebwakya, omukulembeze yatulira ddala nga bweyatuula nga bamulonda okubakulembera. Tewaali njawulo mu ntunula ye yadde.

Omwogezi yavayo mu kiwonvu, nga agoberedwa abalala babiri. Yali tategerekeka nga era ajjudde omusaayi. Bwebaakyuka emabega okulaba abalala abajja, tewali n’omu yadde gwebali balaba okujjako bbo. Okutya kwabajjula bonna, nebagwaamu essuubi mu mwoyo. Bali mukifo kyebatamanyi, ekijjudde ensozi, enjazi – awatali na mayitire. Ennaku bbiri emabega omukulembezze yeyabakulembera okubatuusa enno.

Balowooza ku mikwano n’aboluganda babwe abali bafiridde kulugendo luno. Ennaku ey’obulumi obunji yabajjula mu mu mubiri gwonna. Bali balabye okuzikirira n’amaso gabwe.

Omwogezi yatuuka awaali omukulembeze, mubukoowu n’obulumi obunji, n’eddoboozi elijjudde obukaawu, natandika okw’ogera.

– Kati tulaga wa?

Omukulembeze teyanyega.

– Otutwaala wa era eno wa gy’otuleese? Twakukwasa obulamu bwaffe n’abenganda zaffe netukugoberera, netulekerera amaka gaffe n’ebijja bya bajjajja baffe nga tuyina essuubi ely’okuwona okuzikirira mu kiffo ekyali ekikalu. Naye ggwe atte otuletedde okuzikirira okusingako. Tunulira abantu betusigazza, ku bantu ebibiri betwatandika nabo!

– Ky’ogamba buly’omu taliwo wano? – omukulembeze yabuuza, nga tayimussa na mutwe gwe.

– Oyinza otya okubuuza ekibuuzo nga ekyo? Yimusa amaaso welabireko! Tubale nga wetuli olabe abantu abasigaddewo ku lugendo luno olw’ekitalo! Lengera embeera gyetulimu! Kyandisinseko netufa okusinga okulemala bwetuti.

– Sisobola kubalaba!

– Nga lwaki nedda?

– Ndi muzibe.

Buly’omu teyanyega.

– Amaaso ggo gazibira kulugendo?

– Nazaalibwa nga ndi muzibe!

Abasatu bonna bamutunulira nga tebakikkiriza.

Empewo yafuuwila wakati munsozi era ebikoola bingi byagwa wansi. Olufu lwakwata munsozi wonna, n’ebinyonyi nebibuukira mu mpewo mungeri y’ekyebikiro. Enjuba yekweeka mu bile, ebyali byeyongera okubulirayo amangu ddala.

Abasatu betunulira mu kutya okungi.

– Kati tulage wa? – omu ku bbo yabuuza mpola nyo.

– Tetumanyi!

 

Mu Belgrade, 1901.
Kulwa Pulojekiti ya “Radoje Domanović” nga evunnudwa Kwagala Peace mu lulimi oLuganda, 2020.